
Abasirikale ba traffic abasuula emisanvu nebasolooza sente ku b’ebidduka bakwatiddwa
Abasirikale ba police y’okunguudo 3 bakwatiddwa mu district ye Bukomansimbi, ku bigambibwa nti babadde bateega abagoba b’ebidduka naddala aba pikipiki nebabakanda ensimbi.
Kigambibwa nti abasatu bano babadde bava mu district ye Masaka gyebakolera, nebalinnya pikipiki zabwe akawungeezi nebagenda okusolooza ensimbi mu Bukomansimbi gyebatakolera.
Abagoba ba bodaboda mu bitundu bye Kawoko mu gombolola ye Butenga baludde nga bemulugunya ku basirikale bano, okutuusa ab’ebyokwerinda bwebaasudde enkessi nebaba mu buwuufu.
Kigambibwa nti munnabwe eyakyusibwa okuva mu district ye Bukomansimbi n’atwalibwa e Masaka, yabadde abakulemberamu nebagenda nebagumba mu Bukomansimbi gyebabadde banyagira abagoba b’ebidduka.
Amyuka RDC w’e Bukomansimbi Kalema Fred Pax agambye abasirikale abakwatiddwa bakyakuumibwa mu kaduukulu ka police e Bukomansimbi nga bwebakyetegereza ensonga eno n’abakulira police mu bitundu bye Buddu.
Tags
Comment / Reply From
You May Also Like
Vote / Poll
Which Radio show do you like most?
Narabox TV - Live
Archive
Nara24 FM Recommended
Nara24 FM Featured Posts
Recent On Nara24 FM
Programs
Program Name | Presentor | Start Time | End Time |
Morning Breeze | Habby K | 7:00 Am | 8:00 AM |
The morning Mix | DJ Smog | 8:30 AM | 10:00 AM |
Sports Book | Chris P | 10:30 AM | 11:30 |
Newsletter
Subscribe to our mailing list to get the new updates!